Isaiah 57:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abatuukirivu bazikirira, naye tewali n'omu akissaako mutima; abantu abalungi babuzibwawo, naye tewali ategeera, nti omutuufu abuzibwawo okumuwonya akabi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu abatuukirivu bazikirira, naye tewali akirowoozako n’akatono. Abantu abeewaddeyo eri Katonda batwalibwa nga tewali n’afuddeyo kukirowoozaako. Kubanga omutuukirivu aggyibwawo olw’akabi akagenda okujja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omutuukirivu azikirira, so tewali akissaako mwoyo; n'abantu ab'ekisa baggibwawo, nga tewali alowooza ng'omutuukirivu aggibwa mu bubi obugenda okujja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu omulungi afa ne wabulawo akissaako omwoyo. Abantu ab'ekisa baggyibwawo ne wataba akitegeera, ng'ab'ekisa abo bawonyezeddwa akabi akagenda okujja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutuukirivu azikirira, so tewali akissaako omwoyo; n'abantu ab'ekisa baggibwawo, nga tewali alowooza ng'omutuukirivu aggibwa mu bubi obugenda okujja.