Isaiah 57:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wakoowa mu lugendo lwo oluwanvu, naye tewagamba nti: ‘Bya busa!’ Wazuula amaanyi amaggya, kyewava toyenjebuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amakubo go gonna gakuteganya ne gakukooya nnyo naye teweegamba nako nti, ‘Nteganira ki atalina kyeŋŋanyurwa?’ Singa tewanoonya bikuzaamu maanyi, wandizirise.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olugendo lwo lwayinga obunene ne lukukooya; naye n'otoyogera nti, “ Tewali ssuubi;” walaba ekyakuzzaamu amaanyi; kyewava olema okuzirika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mufuba ne mutegana okunoonyaayo balubaale abalala, era temuterebuka. Mulowooza ng'ebifaananyi ebyenyinyalwa bibawa amaanyi, n'olwekyo temukoowa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olugendo lwo lwayinga obunene ne lukukooya; naye n'otoyogera nti Tewali ssuubi: walaba ekyakuzzaamu amaanyi; kyewava olema okuzirika.