Isaiah 57:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ani gwe watya n'akukwasa ensisi okutuusa okunnimba, nange n'otonzijukira, n'otokissaako mutima? Okumala ebbanga eggwanvu nga nsirise si kye kikuleetedde obutakyantya?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“B’ani abo be watya n’otekemuka n’obawuliriza, n’olyoka olimba, nze n’otonzijukira n’akatono wadde okundowoozaako? Olw’okubanga nsirise n’esikunyega ky’ekikuyinudde n’onneerabira n’ompisaamu amaaso.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ani gwe watya n'otekemuka n'okulimba n'olimba n'otonjijukira nze, so tokissanga ku mwoyo? obw'edda ssaasirika busirisi, naawe n'otontya?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Balubaale ki abo be mutya bwe mutyo, Nze ne munnimba era ne munneerabirira ddala? Mulekedde awo okunzisaamu ekitiibwa, olw'okuba nga nasirika busirisi ebbanga lyonna?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ani gwe watya n'otekemuka n'okulimba n'olimba n'otonjijukira nze, so tokissanga ku mwoyo? obw'edda saasirika busirisi, naawe n'otontya?