Isaiah 57:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'oliraajana, kale bye wakuŋŋaanya bikuwonye! Empewo ejja kubifuumuula, ekikkowe obukkowe kigenda kubikunguzza; naye oyo addukira gy'endi, alirya ensi, y'alifuna olusozi lwange olutukuvu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’okaabanga nga weetaaga obuyambi, leka bakatonda bo be wakuŋŋaanya bakununule; naye empewo eribatwala, omukka obukka abantu gwe bassa gulibaggirawo ddala bonna. Naye oyo anfuula ekiddukiro kye alirya ensi era alitwala olusozi lwange olutukuvu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'okaaba, abo be wakuŋŋaanya bakulokole; naye empewo eribatwala, omukka gulibaggirawo ddala bonna; naye oyo aneesiga nze ye alirya ensi, era ye alisikira olusozi olutukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe mukaaba nga musaba obuyambi, kale ebyo bye mwakuŋŋaanya, bye biba bibawonya. Naye empewo obuwewo eribiggyawo byonna. Kyokka abo abeesiga Nze, ensi be baligibaamu, era be banansinzizanga ku Lusozi Olutukuvu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'okaaba, abo be wakuŋŋaanya bakulokole; naye empewo eribatwala, omukka gulibaggirawo ddala bonna: naye oyo aneesiga nze ye alirya ensi, era ye alisikira olusozi olutukuvu.