Isaiah 57:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baligamba nti: “Muzimbe, muzimbe; muteeketeeke ekkubo. Muggye buli musanvu mu kkubo ly'abantu bange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era kiryogerwa nti, “Muzimbe, muzimbe, mulongoose ekkubo! Muggyeewo enkonge zonna mu kkubo ly’abantu bange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era alyogera nti, “ Mugulumize, mugulumize, mulongoose ekkubo, muggye enkonge mu kkubo ly'abantu bange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Mukoleewo ekkubo, mukoleewo ekkubo, mulitereeze. Muggyeewo enkonge mu kkubo ly'abantu bange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era alyogera nti Mugulumize, mugulumize, mulongoose ekkubo, muggye enkonge mu kkubo ly'abantu bange.