Isaiah 57:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga kino ky'agamba, Oyo Oweekitiibwa, Asukkulumye, oyo Aliwo emirembe gyonna, ow'erinnya ettukuvu nti: “Nsula waggulu mu kifo ekitukuvu, naye era wamu n'eyeemenye, omwetoowaze mu mwoyo, nzize obulamu mu mwoyo gw'omwetoowaze, nzize obulamu mu mutima gw'ayeemenye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bw’atyo bw’ayogera oyo ali waggulu omugulumivu omulamu emirembe n’emirembe, ow’erinnya ettukuvu nti, “Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu awamu n’oyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza, okuzzaamu amaanyi omwoyo gw’abakkakkamu, era n’ogw’abo ababoneredde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'atyo bw'ayogera oyo ali waggulu omugulumivu atuula mu butaliggwaawo, erinnya lye Mutukuvu, nti, “ Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu, era wamu n'oyo alina omwoyo oguboneredde omukkakkamu, okulamya omwoyo gw'abakkakkamu, n'okulamya omutima gw'abo ababoneredde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nze nsukkiridde byonna, era ow'olubeerera, Omutuukirivu. Mbeera mu kifo ekyawaggulu era ekitukuvu. Kyokka era mbeera ne mu bantu abeetoowaze era ababoneredde, ndyoke mbazzeemu omutima n'essuubi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'atyo bw'ayogera oyo ali waggulu omugulumivu atuula mu butaliggwaawo, erinnya lye Mutukuvu, nti Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu, era wamu n'oyo alina omwoyo oguboneredde omukkakkamu, okulamya omwoyo gw'abakkakkamu, n'okulamya omutima gw'abo ababoneredde.