Isaiah 57:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sigenda kuvunaana emirembe gyonna, era sirisunguwala kutuusa ddi na ddi, kubanga omwoyo gw'omuntu gwandiyenjebukidde we ndi, omukka gw'obulamu gwe nakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga sirirumiriza bantu bange emirembe n’emirembe era siribasunguwalira bbanga lyonna. Kubanga omutima gw’omuntu gwandigwereddewo mu maaso gange nga ndaba, emmeeme y’omuntu nze gye nakola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga siriwakana ennaku zonna, so sirisunguwala emirembe gyonna: kubanga omwoyo gwandiggweereddewo mu maaso gange, n'emmeeme ze nnakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nawa abantu bange obulamu, era siribavunaana lugenderezo wadde okubasunguwalira emirembe gyonna, kubanga olwo abantu bange bandifudde, ate Nze Nzennyini be nawa obulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga siriwakana ennaku zonna, so sirisunguwala emirembe gyonna: kubanga omwoyo gwandiggweereddewo mu maaso gange, n'emmeeme ze nnakola.