Isaiah 57:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nanyiiga olw'obubi bw'amaddu ge; namukuba ne mmukweka amaaso gange olw'obusungu, naye yayongera mu bujeemu bw'amakubo g'omutima gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okwegomba kwe okw’obutali butuukirivu nnali nzijjudde obusungu. Namubonereza ne nkweka amaaso gange olw’obusungu obungi naye yeeyongera okugenda mu maaso mu makubo amabi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'omululu gwe ogutali gwa butuukirivu kyennava nsunguwala ne mmukuba, nnakweka amaaso gange ne nsunguwala; ne yeeyongera okugenda mu maaso ng'abambaala mu kkubo ly'omutima gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nabasunguwalira olw'ebibi byabwe n'olw'omululu gwabwe, ne mbabonereza era ne mbaabulira. Naye ne beeyongera kugenda mu maaso, ne bagugubira mu nneeyisa yaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'omululu gwe ogutali gwa butuukirivu kyennava nsunguwala ne mmukuba, nakweka amaaso gange ne nsunguwala: ne yeeyongera okugenda mu maaso ng'abambaala mu kkubo ly'omutima gwe.