Isaiah 57:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndabye amakubo ge, kyokka nzija kumuwonya, nzija kumukulemberamu, muzzeemu omutima, abo abamukungubagira
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nalaba by’akola, naye ndimuwonya. Ndimuluŋŋamya ne muddiza emirembe era ne mbeesabeesa abo abakungubaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndabye amakubo ge, era ndimuwonya; n'okuluŋŋamya ndimuluŋŋamya, ne mmuddiza ebisanyusa ye n'abo abamukaabirako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ndabye nga bwe bayisa, naye nja kubawonya. Nja kubakulembera, mbaluŋŋamye, mbudeebude abo abakaaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndabye amakubo ge; era ndimuwonya: n'okuluŋŋamya ndimuluŋŋamya, ne mmuddiza ebisanyusa ye n'abo abamukaabirako.