Isaiah 57:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ababi bali ng'ennyanja esiikuuse; teyinza kuteeka; amayengo gaayo gasiikuula ettosi n'ebitoomi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ababi bali ng’ennyanja esiikuuse, eteyinza kutereera, ey’amayengo agasiikuula ebitosi n’ebitaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ababi baliŋŋaanga ennyanja esiikuuka; kubanga teyinza kuteeka, n'amazzi gaayo gasiikuuka ebitosi n'ebisasiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abantu ababi bali ng'ennyanja esiikuuka, eteyinza kuteeka. Amayengo gaayo gasiikuula ebitosi n'ebisasiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ababi baliŋŋanga ennyanja esiikuuka; kubanga teyinza kuteeka, n'amazzi gaayo gasiikuuka ebitosi n'ebisasiro.