Isaiah 57:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani gwe muzannyirako? Ani gwe mwasamiza mutyo akamwa ne musowolayo ennimi? Temuli zzadde jjeemu, abaana b'abalimba?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muzannyira ku ani? Ani gwe mukongoola ne mumusoomooza? Temuli baana ba bujeemu, ezzadde eryobulimba?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muzannyira ku ani? ani gwe mukongoola ne mumusoomoza? temuli baana ba kusobya, zzadde lya bulimba,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muzannyira ku ani? Ani gwe mwasamiza akamwa ne mwogera ebimusoomoza? Mmwe aboonoonyi era abajjudde obukuusa!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muzannyira ku ani? ani gwe mukongoola ne mumusoomoza? temuli baana ba kusobya, zzadde lya bulimba,