Isaiah 57:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lusozi oluwanvu ate olugulumivu kwe wateeka ekitanda kyo; eyo gye walinnya okuweereza ebitambiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwambuka ku ntikko z’ensozi okwenda nga mugenze okuwaayo ssaddaaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lusozi oluwanvu olugulumivu kwe wasimba ekitanda kyo; era eyo gye walinnyanga okuwaayo ssaddaaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwateeka ebitanda byammwe ku nsozi empanvu engulumivu, era eyo gye mwambuka okuwaayo ebitambiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lusozi oluwanvu olugulumivu kwe wasimba ekitanda kyo: era eyo gye walinnyanga okuwaayo ssaddaaka.