Isaiah 57:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emabega w'enzigi n'emyango eyo gy'otadde ekijjukizo kyo; wanjabulira, n'obikkula ekitanda kyo, wakiwalampa, n'okibikkulira ddala; wakuba endagaano n'abo ebitanda byabwe by'oyagala, n'otunuulira obwereere bwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emabega w’enzigi zammwe we muteeka ebibumbe eby’obuwemu bye musinza. Mwandeka ne mukola eby’obuwemu mu bitanda byammwe ebigazi. Eyo gye mweyambulira ne mukola endagaano n’abo be mwagala be muleeta mu bitanda byammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era wasimba ekijjukizo kyo emabega w'enzigi n'emifuubeeto, kubanga weebikkulidde omulala atali nze, era olinnye ogaziyizza ekitanda kyo ne weeragaanira endagaano nabo; wayagala ekitanda kyabwe gye wakirabira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukukulira emabega w'enzigi zammwe ebifaananyi ebyenyinyalwa. Mundeka awo, ne mweyambulira omulala atali nze, ne mulinnya naye ekitanda ekigazi, ne mumusasula okwebaka nammwe, ne mumatiza amaddu gammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era wasimba ekijjukizo kyo ennyuma w'enzigi n'emifuubeeto: kubanga weebikkulidde omulala atali nze, era olinnye; ogaziyizza ekitanda kyo ne weeragaanira endagaano nabo; wayagala ekitanda kyabwe gye wakirabira.