Isaiah 57:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wagenda eri Moleki ng'otutte omuzigo, ebyakaloosa byo n'obyongera obungi; watuma ababaka bo ewala, ggwe wennyini n'okkirira emagombe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne weekuba kalifuuwa omuyitirivu ng’ogenda okutwala amafuta ag’omuzeeyituuni ewa Moleki katonda wo, n’otuma ababaka bo ewala ennyo banoonye bakatonda, kumpi batuuke n’emagombe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ogenda eri kabaka ng'olina amafuta ag'omugavu, n'oyongera kalifuwa wo, n'otuma wala ababaka bo, ne weetoowaza okutuusa ne mu magombe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwesiiga omuzigo n'ebyobuwoowo bingi, ne mugenda okusinza lubaale Moleki. Okuzuula balubaale be munaasinza, mutuma ewala ababaka, ne bakkirira n'emagombe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ogenda eri kabaka ng'olina amafuta ag'omugavu, n'oyongera kalifuwa wo, n'otuma wala ababaka bo, ne weetoowaza okutuusa ne mu magombe.