Isaiah 58:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bw'olyeresa olw'omuyala, n'omalira omunaku ekyetaago kye, ekitangaala kyo kirisituka mu nzikiza, n'obudde bwo obw'akazigizigi buliba ng'ettuntu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bw’olyewaayo okuyamba abayala n’odduukirira abali mu buzibu, olwo omusana gwo gulyaka n’ova mu kizikiza, ekibadde ekiro kifuuke ettuntu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'omuggirawo omuyala obulamu bwo, n'okkusa obulamu obubonyaabonyezebwa; kale omusana gwo ne gulyoka guviirayo mu kizikiza, n'ekifu kyo kiriba ng'ettuntu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abayala ne mubawa emmere, ne muyamba abali mu bwetaavu, olwo ekizikiza n'ekifu ebibeetoolodde mmwe, birifuuka ng'ekitangaala eky'omu ttuntu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'omuggirawo omuyala obulamu bwo, n'okkusa obulamu obubonyaabonyezebwa; kale omusana gwo ne gulyoka guviirayo mu kizikiza, n'ekifu kyo kiriba ng'ettuntu: