Isaiah 58:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bulijjo Omukama y'alikukulemberamu, alikumalira ebyetaago byo mu nsi enkalu; amagumba go aligagumya. Oliba ng'ennimiro efukirirwa, ng'ensulo ey'amazzi agatakalira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna, n’akuwa ebintu ebirungi obulamu bwo bye bwetaaga, amagumba go aligongeramu amaanyi; era olibeera ng’ennimiro enfukirire obulungi, era ng’oluzzi olw’amazzi agatakalira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna, n'akkusa obulamu bwo mu bifo ebikalu n'anyweza amagumba go; naawe onoobanga ng'olusuku olufukirirwa amazzi era ng'oluzzi lw'amazzi olutaggwaamu mazzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era olwo Nze Mukama, nnaabaluŋŋamyanga ennaku zonna, ne mbawa ebirungi ne mu bifo ebikalu, ne mbafuula bagumu ba maanyi. Mulibeeranga ng'ennimiro efukirirwa amazzi, era ng'oluzzi lw'amazzi olutakalira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna, n'akkusa obulamu bwo mu bifo ebikalu n'anyweza amagumba go; naawe onoobanga ng'olusuku olufukirirwa amazzi era ng'oluzzi lw'amazzi olutaggwaamu mazzi.