Isaiah 58:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bo baliddamu okuzimba amatongo ag'edda, olisitula emisingi egimaze emyaka n'emyaka; balikuyita ‘Muddaabiriza w'Ebisenge ebyabomolwa’, ‘Muzzaawo w'Amakubo okuli ebisulo’.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abantu bo balizimba ebifo eby’edda ebyazika era baddemu okuzimba emisingi egy’edda. Olyoke oyitibwe omuddaabiriza wa bbugwe eyamenyeka, omuddaabiriza wa mayumba ag’okusulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abo abalikuvaamu balizimba ebifo eby'edda ebyazika; olizza emisingi egy'emirembe emingi; era oliyitibwa nti Muzibi wa kituli, Muzza wa makubo ga kutuulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abasibuka mu mmwe, balizimba buggya ebifo eby'edda ebyayonoonebwa, balizzaawo emisingi egy'emirembe egy'edda ennyo. Munaayitibwanga abantu abazibi b'ebituli, abazza obuggya ebifo eby'okubeeramu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abo abalikuvaamu balizimba ebifo eby'edda ebyazika: olizza emisingi egy'emirembe emingi: era oliyitibwa nti Muzibi wa kituli, Muzza wa makubo ga kutuulamu.