Isaiah 58:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ebigere byo bw'olibitangira okumenya Sabbaato, n'okumala geekolera bibyo ku lunaku lwange olutukuvu, naye Sabbaato n'omanya nti ssanyu, nti lunaku lwa Mukama lwa kitiibwa, n'olukuza nga teweekwatira makubo go, n'otamala geekolera bibyo, oba okudda mu kwogera olutakutuka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’oneekuumanga obutayonoona Ssabbiiti, obutakola nga bw’oyagala ku lunaku lwange olutukuvu, bw’onooluyitanga olw’essanyu era olunaku lwa Mukama olw’ekitiibwa, singa muluwa ekitiibwa ne mutakwata makubo gammwe oba obutakola nga bwe mwagala oba okwogera ebigambo eby’okubalaata,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'onookyusanga ekigere kyo okuva ku Ssabbiiti obutakolanga by'oyagala ggwe ku lunaku lwange olutukuvu; Ssabbiiti n'ogiyita essanyu, olunaku lwa Mukama olutukuvu olw'ekitiibwa; n'ogissangamu ekitiibwa, nga tokwata makubo go ggwe, so nga tonoonya by'oyagala ggwe, era nga toyogera bigambo byo ggwe:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Bwe munaakuumanga Sabbaato ne mutagikolerangako byammwe bye mwagala naye n'eba olunaku lwange olutukuvu, ne mulussaamu ekitiibwa nga mulekayo okulutambulirako eŋŋendo, okulukolerako emirimu, n'okulwogererako ebigambo eby'ekigayaavu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'onookyusanga ekigere kyo okuva ku ssabbiiti obutakolanga by'oyagala ggwe ku lunaku lwange olutukuvu; ssabbiiti n'ogiyita essanyu, olunaku lwa Mukama olutukuvu olw'ekitiibwa; n'ogissangamu ekitiibwa, nga tokwata makubo go ggwe, so nga tonoonya by'oyagala ggwe, era nga toyogera bigambo byo ggwe: