Isaiah 58:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
olwo olisanyukira mu Mukama, nange ndikwebagaza ku butemyo bw'ensi; ndikuliisa ku busika bwa jjajjaawo Yakobo.” Akamwa k'Omukama ke koogedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
awo olifuna essanyu eriva eri Mukama era olitambulira mu bifo by’ensi ebya waggulu era ndikuwa obusika bwa kitaawo Yakobo” Akamwa ka Mukama ke kakyogedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale n'olyoka osanyukira Mukama; nange ndikwebagaza ku bifo ebigulumivu eby'ensi; era ndikuliisa obusika bwa Yakobo kitaawo, kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
olwo mulifuna essanyu erisibuka mu kumpeereza Nze Mukama. Ndibaleetera mmwe okuweebwa ekitiibwa mu nsi yonna, era ndibawa ensi gye nagabira jjajjammwe Yakobo, n'eba obutaka bwammwe. Nze Mukama, njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale n'olyoka osanyukira Mukama; nange ndikwebagaza ku bifo ebigulumivu eby'ensi; era ndikuliisa obusika bwa Yakobo kitaawo: kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.