Isaiah 58:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso nnyini bannoonya buli lunaku, baagala okumanya amakubo gange, bali ng'eggwanga eryayisanga mu butuukirivu, eriteesammulanga biragiro bya Katonda waalyo. Bansaba amateeka g'obutuukirivu, baagala okusemberera Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bannoonya buli lunaku era beegomba okumanya amakubo gange, nga bali ng’abantu abakola eby’obutuukirivu so si abaaleka edda ebiragiro bya Katonda waabwe. Bambuuza ensala ennuŋŋamu, ne basanyukira Katonda okusembera gye bali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bannoonya bulijjo, era basanyuka okumanya amakubo gange; ng'eggwanga eryakolanga eby'obutuukirivu, ne bataleka kiragiro kya Katonda waabwe, bansaba ebiragiro eby'obutuukirivu, basanyuka okusemberera Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bansinza buli lunaku ne balaga nti baagala okumanya engeri zange n'okukwata ebiragiro byange. Bansaba okubawa amateeka ag'obwenkanya, era bagamba nti basanyuka okunsinza, Nze Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bannoonya bulijjo, era basanyuka okumanya amakubo gange: ng'eggwanga eryakolanga eby'obutuukirivu, ne bataleka kiragiro kya Katonda waabwe, bansaba ebiragiro eby'obutuukirivu; basanyuka okusemberera Katonda.