Isaiah 58:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Lwaki tusiiba, ggwe n'otolaba? Lwaki twebonereza, ggwe n'otofaayo kukimanya?’ Naye mulabe, ku lunaku lwe musiiba, mwenoonyeza bibasanyusa, abakozi bammwe bonna ne mubanyigiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Beebuuza nti, “Lwaki twasiiba, naye ggwe n’otokifaako? Lwaki twetoowaza naye ggwe n’otokissaako mwoyo?” Musooke mulabe, ennaku ze musiiba muba munoonya ssanyu lyammwe ku bwammwe, musigala munyigiriza abakozi bammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lwaki ffe okusiiba, bwe boogera, naawe n'otolaba? Lwaki ffe okubonyaabonya obulamu bwaffe, naawe n'otokissaako mwoyo? Laba, ku lunaku olw'okusiiba kwammwe kwe mulabira essanyu lyammwe mmwe, musigala munyigiriza abakozi bammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Babuuza nti: ‘Lwaki tusiiba, naye ggwe n'otofanayo? Lwaki twebonereza, naye ggwe n'otokissaako mwoyo?’ Nze mbaddamu nti: ‘Mulabe, ku lunaku lwe musiibirako, mwenoonyeza bibasanyusa era munyigiriza abakozi bammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lwaki ffe okusiiba, bwe boogera, naawe n'otolaba? lwaki ffe okubonyaabonya obulamu bwaffe, naawe n'otokissaako mwoyo? Laba, ku lunaku olw'okusiiba kwammwe kwe mulabira essanyu lyammwe mmwe, n'emirimu gyammwe gyonna nga mukoze n'amaanyi.