Isaiah 58:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale, musiibirira kuyomba na kulwana, na kukubagana bikonde olw'omutima omubi. Okusiiba nga bwe mukola kaakati, tekujja kutuusa mulanga gwammwe waggulu ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Njagala mulabe. Kalungi ki akali mu kusiiba ng’ate mugenda kudda mu nnyombo, n’okukaayana n’okukuba bannammwe agakonde. Temuyinza kusiiba nga bwe mukola kaakano eddoboozi lyammwe ne liwulirwa mu ggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, musiibira ennyombo n'okulwana, nga mukuba ebikonde. Temuyinza kusiiba leero bwe mutyo eddoboozi lyammwe ne liwulirwa mu ggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okusiiba kwammwe kubafuula bakambwe, ne muyomba era ne mulwana, ne mukuba ebikonde olw'obusungu.’ “Temulowooza nti munaasiiba mu ngeri ng'eyo, ne muyimusa eddoboozi lyammwe ne liwulirwa mu ggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, musiibira ennyombo n'okuwakana, n'okukuba ekikonde eky'ettima: temusiiba leero bwe mutyo n'okuwuliza ne muwuliza eddoboozi lyammwe mu ggulu.