Isaiah 58:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okwo kwe kusiiba kwe nasiima: okuba n'olunaku omuntu lwe yeebonerezaako, okuweta emitwe gyammwe ng'olumuli, oba okweyalira ekikutiya n'evvu? Okwo kw'oyita okusiiba, olunaku olusanyusa Omukama?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okusiiba kwe nalonda bwe kutyo bwe kufaanana? Olunaku omuntu lw’eyetoowalizaako? Kukutamya bukutamya mutwe, kuguweta nga lumuli n’okugalamira mu bibukutu mu vvu? Okwo kwe muyita okusiiba, olunaku olusiimibwa Mukama?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okusiiba kwe nnalonda bwe kutyo bwe kufaanana? Olunaku omuntu lw'abonyezabonyezaako obulamu bwe? Kwe kukutamya omutwe ng'olulago, n'okwaliira ebibukutu n'evvu wansi we? Ekyo ky'onooyita okusiiba, era olunaku Mukama lw'asiima?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okusiiba kwe njagala bwe kufaanana bwe kutyo? Era olunaku omuntu lwe yeetoowalizaako bwe lubeera bwe lutyo? Okusiiba kwe kukoteka omutwe ng'olumuli bwe lukutama, n'okweyaliirira ebikutiya n'evvu? Ekyo kye muyita okusiiba, era olunaku lwe nsiima?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okusiiba kwe nnalonda bwe kufaanana bwe kutyo? Olunaku omuntu lw'abonyezabonyezaako obulamu bwe? Kwe kukutamya omutwe ng'olulago, n'okwaliira ebibukutu n'evvu wansi we? ekyo ky'onooyita okusiiba, era olunaku Mukama lw'asiima?