Isaiah 58:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kuno si kwe kusiiba kwe nsiima: Okuggyawo envuba z'obwonoonefu, okusumulula enkoba z'ekikoligo, okuta abadoobezebwa, n'okumenya buli kikoligo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kuno kwe kusiiba kwe nalonda; okusumulula enjegere ezinyigiriza abantu, n’okuggyawo emiguwa gy’ekikoligo, n’okuta abo abanyigirizibwa, n’okumenya buli kikoligo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuno si kwe kusiiba kwe nnalonda? okusumulula ebisiba eby'ekyejo, okufunduukulula emigwa egy'ekikoligo, n'okuteera ddala abajoogebwa, era mumenye buli kikoligo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Okusiiba kwe njagala kwe kuno: muggyeewo enjegere n'ebikoligo ebinyigiriza abantu mu butali bwenkanya; musumulule abasibe abanyigirizibwa mubate bagende. Muggyeewo buli ekinyigiriza abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuno si kwe kusiiba kwe nnalonda? okusumulula ebisiba eby'ekyejo, okufunduukulula emigwa egy'ekikoligo, n'okuteera ddala abajoogebwa, era mumenye buli kikoligo?