Isaiah 58:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Si kwe kwawuliza ku muyala ku mmere yo, n'omunaku emmomboze okumuwa aw'okusula, ng'olabye ali obwereere n'omwambaza, n'abo omubiri gwo n'omusaayi gwo n'otobakuba mabega?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Si kugabira bayala ku mmere yo, n’okusembeza abaavu abatalina maka mu nnyumba yo; bw’olaba ali obwereere, n’omwambaza n’otekweka baŋŋanda zo abeetaaga obuyambi bwo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Si kugabira bayala emmere yo, n'oleeta abaavu abagobebwa mu nnyumba yo? bw'olabanga ali obwereere n'omwambaza; n'oteekweka baganda bo abeetaaga obuyambi bwo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayala mubawe ku mmere yammwe, abaavu abagobaganyizibwa mubasembeze mu maka gammwe. Abo abali obwereere mubagabire ebyokwambala, era muleme kugaana kuyamba bantu bannammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Si kugabira bayala emmere yo, n'oleeta abaavu abagobebwa mu nnyumba yo? bw'olabanga ali obwereere n'omwambaza; n'oteekisa mubiri gwo ggwe?