Isaiah 58:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo ekitangaala kyo kirivaayo nga mmambya, n'okuwona kwo kulirabika mangu; olwo obutuukirivu bwo bulikukulemberamu, n'ekitiibwa ky'Omukama kirikuvaako ennyuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omusana gwo gulyoke guveeyo gwake ng’emmambya esala, era okuwonyezebwa kwo kujje mangu; obutuukirivu bwo bukukulembere, era ekitiibwa kya Katonda kikuveeko emabega.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale omusana gwo ne gulyoka gusala ng'emmambya, n'okuwona kwo ne kwanguwa okujja, n'obutuukirivu bwo bulikukulembera; ekitiibwa kya Mukama kirikuvaako emabega.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Olwo mulyakaayakana ng'emmambya, era muliwonyezebwa mangu. Ebikolwa byammwe ebirungi binaabakulemberangamu, ekitiibwa kyange Nze Mukama, ne kibabugiriza okubakuuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale omusana gwo ne gulyoka gusala ng'emmambya, n'okuwona kwo ne kwanguwa okujja: n'obutuukirivu bwo bulikukulembera; ekitiibwa kya Mukama kye kirikusemba.