Isaiah 59:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tuwuluguma ng'eddubu, tusindogoma ng'amayiba; tunoonya obwenkanya naye teri kantu; tulindirira obulokofu, naye butuli wala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ffenna tuwuluguma ng’eddubu ne tusinda nga bukaamukuukulu. Tusuubira okuggyibwa mu kunyigirizibwa naye nga bwereere, n’obulokozi butuliwala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Fenna tuwuluguma ng'eddubu, ne tuwuubaala nnyo nga bukaamukuukulu; tusuubira omusango naye nga tewali; tusuubira obulokozi, naye butuli wala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ffenna tuwuluguma ng'eddubu, ne tuwuubaala nnyo nga bukaamukuukulu. Twegomba Katonda okutuwonya okunyigirizibwa, kyokka tewali kikolebwa; twegomba okununulibwa, kyokka kutwesamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Fenna tuwuluguma ng'eddubu, ne tuwuubaala nnyo nga bukaamukuukulu: tusuubira omusango naye nga tewali; tusuubira obulokozi, naye butuli wala.