Isaiah 59:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti emisango gyaffe mingi mu maaso go, n'ebibi byaffe bitulumiriza; buli kabanga emisango gyaffe giri naffe, ebyonoono byaffe tubimanyi:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ebisobyo byaffe bingi mu maaso go era ebibi byaffe bitulumiriza, kubanga ebisobyo byaffe biri naffe, era tumanyi obutali butuukirivu bwaffe;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga okusobya kwaffe kweyongedde mu maaso go, n'ebibi byaffe be bajulirwa gyetuli: kubanga okusobya kwaffe kuli naffe, n'obutali butuukirivu bwaffe nabwo tubumanyi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ayi Mukama, okusobya kwaffe kweyongedde mu maaso go, era ebibi byaffe bitulumiriza. Naffe ffennyini tulaba okusobya kwaffe, n'ebibi byaffe byonna tubimanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga okusobya kwaffe kweyongedde mu maaso go, n'ebibi byaffe be bajulirwa gye tuli: kubanga okusobya kwaffe kuli naffe, n’obutali butuukirivu bwaffe nabwo tubumanyi: