Isaiah 59:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okujeemera n'okwegaana Omukama, okuva ku Katonda waffe, okusaakiriza eby'obukambwe n'obujeemu; okwogera eby'obulimba emitima gyaffe bye gifumbiridde;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
obujeemu n’enkwe eri Mukama era n’okulekeraawo okugoberera Katonda waffe. Okutegeka obwediimo n’okunyigiriza, okwogera eby’obulimba n’emitima gyaffe bye girowoozezza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga tusobya era nga twegaana Mukama, era nga tukyuka obutagoberera Katonda waffe, nga twogera eby'okujooga n'eby'okujeema, nga tugunja ebigambo eby'obulimba era nga tubyogera okuva mu mutima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tukujeemera ne tukuvaako ggwe Mukama, ne tugaana okukugoberera ggwe Katonda waffe. Twajoonyesa abalala, ne tukujeemera. Ebirowoozo byaffe bikyamu, n'ebigambo bye twogera bya bulimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga tusobya era nga twegaana Mukama, era nga tukyuka obutagoberera Katonda waffe, nga twogera eby'okujooga n’eby'okujeema, nga tugunja ebigambo eby'obulimba era nga tubyogera okuva mu mutima.