Isaiah 59:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
obulungi busendeddwa nnyuma, n'obutuukirivu buli wala; mu mpya z'ekibuga amazima gasuuliddwa n'obutuufu tebuyinza kuyingira;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obwenkanya buddiridde n’obutuukirivu ne bubeera wala. Amazima geesitalidde mu luguudo, n’obwesimbu tebuyinza kuyingira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omusango gukyusibwa okudda emabega, n'obutuukirivu buyimirira wala: kubanga amazima gagudde mu luguudo, so n'obugolokofu tebuyinza kuyingira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tuggyawo obwenkanya, n'ebituufu ne bitubeera wala. Amazima tegasangibwa mu nguudo, n'obwesimbu tebuliiwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omusango gukyusibwa okudda ennyuma, n'obutuukirivu buyimirira wala: kubanga amazima gagwiridde mu luguudo, so n'obugolokofu tebuyinza kuyingira.