Isaiah 59:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
amazima gabuze, n'eyeesamba ekibi afuuka muyiggo. Kino Omukama yakiraba, teyasanyuka okulaba ng'obutuufu tebuliiwo;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali w’oyinza kusanga mazima, era oyo ava ku kibi asuulibwa. Mukama yakiraba n’atasanyuka kubanga tewaali bwenkanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weewaawo, amazima gabuze; n'oyo ava mu bubi yeefuula munyago; Mukama n'akiraba n'anyiiga obutabaawo bwenkanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amazima gakendedde mu bantu, era oyo alekayo okukola ebibi atuusibwako emitawaana.” Mukama yalaba ekyo, n'anyiiga, olw'obutabaawo bwenkanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, amazima gabuze; n'oyo ava mu bubi yeefuula munyago: Mukama n'akiraba n'anyiiga obutabaawo musango.