Isaiah 59:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yalaba nga teri muntu; ne yeewuunya okulaba nga tewali adduukirira; awo omukono gwe ne gumuwa obuwanguzi, obutuukirivu bwe ne bumuwanirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alaba nga tewali muntu, ne yennyamira nti tewali muntu ayinza kudduukirira. Noolwekyo kwe kusalawo okukozesa omukono gwe ye kennyini okuleeta obulokozi n’obutuukirivu bwe okuwangula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'alaba nga tewali muntu, ne yeewuunya obutabaawo muwolereza; omukono gwe ye kyegwava gumuleetera obulokozi; n'obutuukirivu bwe bwe bwamuwanirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yeewuunya okulaba nga tewali muntu n'omu awolereza abanyigirizibwa. N'olwekyo ye yennyini ajja kukozesa obuyinza bwe okujuna abantu be, n'okubatuusa ku buwanguzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'alaba nga tewali muntu, ne yeewuunya obutabaawo muwolereza: omukono gwe ye kyegwava gumuleetera obulokozi; n'obutuukirivu bwe bwe bwamuwanirira.