Isaiah 59:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yayambala obutuukirivu ng'ekizibawo eky'ekyuma ku kifuba, n'enkuufiira ey'obulokofu ku mutwe gwe; yayambala ekyambalo eky'okuwoolera eggwanga, ne yeezingirira obumalirivu ng'ekyambalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yayambala obutuukirivu bwe ng’eky’omu kifuba, era n’enkuufiira ey’obulokozi ku mutwe gwe; n’ateekako ebyambalo by’okuwoolera eggwanga era n’ayambala obunyiikivu ng’omunagiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayambala obutuukirivu ng'eky'omu kifuba, n'enkuufiira ey'obulokozi ku mutwe gwe; n'ayambala engoye ez'okuwalana eggwanga okuba ebyambalo, n'ayambazibwa obunyiikivu ng'omunagiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ajja kwambala obwenkanya ng'ekyambalo eky'ekyuma kye bambala mu kifuba, atikkire ku mutwe gwe enkuufiira ey'obuwanguzi. Ajja kwambala okwagala ennyo okutereeza ebintu byonna, n'okubonereza, era n'okuwoolera eggwanga olw'ebikyamu byonna ebyakolebwa ku bantu be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayambala obutuukirivu ng'eky'omu kifuba, n'enkuufiira ey'obulokozi ku mutwe gwe; n'ayambala engoye ez'okuwalana eggwanga okuba ebyambalo, n'ayambazibwa obunyiikivu ng'omunagiro.