Isaiah 59:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bwe bakoze, naye bw'alibasasula: alisasula n'obusungu abamukyawa, n'ebibonerezo abalabe be; ebizinga nabyo alibisasula ekibigyamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’ebikolwa byabwe bwe biri bwalisasula ekiruyi ku balabe be, n’abamukyawa alibawa empeera yaabwe, n’abo abali ewala mu bizinga abasasule.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'ebikolwa byabwe bwe biriba, bw'atyo bw'alisasula, abamukyawa alibasasula ekiruyi, abamukyawa alibasasula empeera; alisasula ebizinga empeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alibonereza abalabe be ng'asinziira ku bye baakola, ng'atwaliramu n'abo abali ewala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'ebikolwa byabwe bwe biriba, bw'atyo bw'alisasula, abamukyawa alibasasula ekiruyi, abamukyawa alibasasula empeera; alisasula ebizinga empeera.