Isaiah 59:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo ebugwanjuba abantu balitya erinnya ly'Omukama; n'abaliba ebuvanjuba balitya ekitiibwa kye; kubanga alijja ng'engezi ey'amaanyi, omwoyo gw'Omukama gye gukuluggusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo balitya erinnya lya Mukama okuva ebugwanjuba, n’ekitiibwa kye okuva ebuvanjuba, kubanga alijja ng’omugga ogukulukuta n’amaanyi, omukka gwa Mukama gwe gutwala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale balitya erinnya lya Mukama okuva ebugwanjuba, n'ekitiibwa kye okuva ebuvanjuba: kubanga alijja ng'omugga ogukulukuta n'amaanyi, ogutwalibwa n'omukka gwa Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba balimutya era balitya obuyinza bwe. Alijja ng'omugga ogukulukuta n'amaanyi, ogutwalibwa embuyaga ye yennyini Mukama gy'asindika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale balitya erinnya lya Mukama okuva ebugwanjuba, n’ekitiibwa kye okuva ebuvanjuba: kubanga alijja ng'omugga ogukulukuta n'amaanyi, ogutwalibwa n'omukka gwa Mukama.