Isaiah 59:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omununuzi alijja mu Siyoni, eri ab'omu Yakobo abavudde mu bisobyo,” Omukama bw'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era Omununuzi alijja mu Sayuuni, eri abo abeenenya ebibi byabwe mu Yakobo,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omununuzi alijja e Sayuuni n'eri abo abakyuka okuva mu kusobya mu Yakobo, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba abantu be nti: “Ndijja e Siyooni okununula aba Yakobo abakyuka okuva mu bibi byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omununuzi alijja e Sayuuni n'eri abo abakyuka okuva mu kusobya mu Yakobo, bw'ayogera Mukama.