Isaiah 59:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nze ku lwange, eno ye ndagaano yange nabo,” Omukama y'ayogera, “omwoyo gwange ogukuliko n'ebigambo byange bye nkutadde mu kamwa tebigenda kuva mu kamwa ko ne mu kamwa k'abaana bo, yadde mu kamwa k'abazzukulu bo, okuva kati n'emirembe gyonna,” Omukama bw'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era, eno y’endagaano yange gye nkola nabo,” bw’ayogera Mukama. “Omwoyo wange ali ku ggwe era n’ebigambo byange bye ntadde mu kamwa ko, tebiivenga mu kamwa ko, oba mu kamwa k’abaana bo, wadde mu kamwa k’abaana b’abaana bo, okuva kaakano okutuusa emirembe n’emirembe,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Nange eno y'endagaano yange gye ndagaana nabo, bw'ayogera Mukama; omwoyo gwange oguli ku ggwe n'ebigambo byange bye ntadde mu kamwa ko tebiivenga mu kamwa ko newakubadde mu kamwa k'ezzadde lyo newakubadde mu kamwa k'ezzadde ly'ezzadde lyo, bw'ayogera Mukama, okusooka kaakano n'emirembe n'emirembe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikola nammwe endagaano. Ntaddewo obuyinza bwange n'ebyo bye njigiriza, bibeerenga nammwe olubeerera. Era okuva kati munaabuuliranga era munaayigirizanga abaana bammwe ne bazzukulu bammwe okumpuliranga emirembe gyonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange eno y'endagaano yange gye ndagaana nabo, bw'ayogera Mukama: omwoyo gwange oguli ku ggwe n'ebigambo byange bye ntadde mu kamwa ko tebiivenga mu kamwa ko newakubadde mu kamwa k'ezzadde lyo newakubadde mu kamwa k'ezzadde ly'ezzadde lyo, bw'ayogera Mukama, okusooka kaakano n'emirembe n'emirembe.