Isaiah 59:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewali akoowoola butuufu, yadde awoza mu mazima; embuto bafuna za kutawaana, ne bazaala bugwenyufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali awaaba bya nsonga so tewali awoza mu mazima; Beesiga ensonga ezitaliimu, ne boogera eby’obulimba, ne baleeta emitawaana ne bazaala obulabe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewali awaaba eby'ensonga so tewali awoza eby'amazima; beesiga obutaliimu ne boogera eby'obulimba; baba mbuto za bubi ne bazaala obutali butuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewali awaaba oba awoza bituufu era eby'amazima, naye mwesigama ku bikyamu era mwogera bya bulimba. Mutegeka bya ttima, ne bivaamu akabi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewali awaaba eby'ensonga so tewali awoza eby'amazima: beesiga obutaliimu ne boogera eby'obulimba; baba mbuto za bubi ne bazaala obutali butuukirivu.