Isaiah 59:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Babiika magi g'amasalambwa, ne balanga ebitimba bya nnabbubi; alya ku magi gaabwe afa bufi, ate erimu bwe lyasibwa mwalulibwamu ssalambwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baalula amagi ag’essalambwa ne balanga ewuzi za nnabbubi: alya ku magi gaabwe afa n’eryo eriba lyatise livaamu mbalasaasa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baalula amagi ag'essalambwa ne baluka engoye eza nnabbubi; alya ku magi gaabwe afa, n'ekyo ekibetentebwa ne kiwamatukamu embalasaasa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enkwe ze mukola ziba za kabi ng'amagi g'omusota ogw'obusagwa. Eggi ly'oyasa livaamu musota, era alya ku ggi ng'eryo afa bufi. Ebikolwa byammwe biri nga kuluka ngoye mu lutimbe lwa nnabbubi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baalula amagi ag'essalambwa ne baluka engoye eza nnabbubi: alya ku magi gaabwe afa n'ekyo ekibetentebwa ne kiwamatukamu embalasaasa.