Isaiah 59:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebigere byabwe bidduka biraga eri kibi; banguyira okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango. Bye balowooza, birowoozo bibi; mu makubo gaabwe mulimu kwonoona na kuzikirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebigere byabwe byanguyirira bikole ebibi era bapapirira bayiwe omusaayi ogutalina musango. Ebirowoozo byabwe birowoozo bya bubi, n’okuzika n’okuzikiriza bye biba buli we bagenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebigere byabwe bidduka mbiro okugoberera obubi, era banguya okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango; ebirowoozo byabwe birowoozo bya butali butuukirivu; okuzika n'okuzikirizibwa kuba mu makubo gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwanguwa okukola ebibi, era temulwawo okubituukiriza. Temusibaamu okutemula abataliiko musango. Buli we muyita muleka muzisizzaawo, era nga muzikirizzaawo. Bulijjo mulowooza kukola bibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebigere byabwe bidduka mbiro okugoberera obubi, era banguya okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango: ebirowoozo byabwe birowoozo bya butali butuukirivu; okuzika n'okuzikirizibwa kuba mu makubo gaabwe.