Isaiah 59:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo obulungi butuli wala, n'obutuukirivu tebututuukako. Tunoonya ekitangaala, naye yiino nzikiza; tunoonya obutangaavu, naye ate tutambulira mu kibululu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amazima gatuli wala, n’obutuukirivu tetubufunye. Tunoonyezza omusana naye ekizikiza kitwesibyeko, we tusuubira obutangaavu, tutambulidde mu bisiikirize byereere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amazima gatuli wala, so n'obutuukirivu tetubufunye, tusuubira omusana, naye ne tulaba kizikiza; tusuubira okumasamasa, naye ne tutambulira mu kifu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ne bagamba nti: “Ekyo kye kitugaana okuba n'amazima era n'obwenkanya. Tulinda ekitangaala ne tufuna kizikiza era ne tutambulira mu kifu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusango kyeguva gutubeera ewala, so n'obutuukirivu tebututuukako: tusuubira omusana, naye ne tulaba kizikiza; tusuubira okumasamasa naye ne tutambulira mu kifu.