Isaiah 6:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka kabaka Wuzziya mwe yafiira, nalaba Omukama ng'atudde ku nnamulondo ey'ekitiibwa, ng'eri waggulu ngulumivu; emivuluya gye nga gijjuzizza Ekiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira, nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe empanvu ng’agulumizibbwa, n’ekirenge ky’ekyambalo kye nga kijjula yeekaalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira nnalaba Mukama ng'atudde ku ntebe, empanvu era engulumivu, n'ekirenge ky'ekyambalo kye nga kijjuzizza Yeekaalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka Kabaka Wuzziya mwe yakisiza omukono, nalaba Mukama ng'atudde ku ntebe empanvu era engulumivu, ng'ekirenge ky'ekyambalo kye kijjuzizza Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira nalaba Mukama ng'atudde ku ntebe, empanvu eyagulumizibwa, n'ekirenge kye nga kijjula yeekaalu.