Isaiah 6:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kalubya omutima gw'abantu bano, amatu gaabwe gazitoye, n'amaaso gaabwe gazibuwaliddwa okuwulira, sikulwa nga balaba n'amaaso gaabwe, ne bawulira n'amatu gaabwe, ne bategeera n'emitima gyabwe, ne badda ne bawonyezebwa.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okakanyaze omutima gw’abantu bano, oggale amatu gaabwe, n’amaaso gazibe si kulwa nga balaba n’amaaso gaabwe oba okuwulira n’amatu gaabwe oba okutegeera n’emitima gyabwe ne bakyuka bawonyezebwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Savuwaza omutima gw'abantu bano, era ggala amatu gaabwe, era ziba amaaso gaabwe; baleme okulaba n'amaaso gaabwe, n'okuwulira n'amatu gaabwe, n'okutegeera n'omutima gwabwe, okukyuka, okuwonyezebwa.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'aŋŋamba nti: “Gubya omutima gw'abantu abo, oggale amatu gaabwe, era ozibe amaaso gaabwe, sikulwa nga balaba n'amaaso gaabwe, nga bawulira n'amatu gaabwe, era nga bategeera n'omutima gwabwe ne bakyuka, ne bawonyezebwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Savuwaza omutima gw'abantu bano, era ggala amatu gaabwe, era ziba amaaso gaabwe; baleme okulaba n'amaaso gaabwe, n'okuwulira n'amatu gaabwe, n'okutegeera n'omutima gwabwe, n'okukyuka, okuwonyezebwa.