Isaiah 6:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne nziramu nti: “Kutuusa wa, ayi Mukama?” N'anziramu nti: “Okutuusa ng'ebibuga bifuuse matongo, nga tewakyali abisulamu, nga n'amayumba tegakyalimu muntu, n'ensi ng'esigalidde ddala ttayo, evunjagiddwa;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndyoka njogera nti, “Mukama wange birituusa ddi okuba bwe biti?” Nanziramu nti, “Okutuusa ebibuga lwe birizika nga tewali abibeeramu, ne mu mayumba nga temuli muntu, ensi ng’esigalidde awo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze ne ndyoka mbuuza nti, “Mukama wange, ekyo kirituusa ddi okuba bwe kityo?” N'addamu nti, “Okutuusa ng'ebibuga bifuuse amatongo, nga tewali babibeeramu, n'amayumba nga tegakyalimu bantu, n'ensi ng'ezikidde ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze ne mbuuza nti: “Mukama wange, ekyo kirituusa ddi okuba bwe kityo?” N'addamu nti: “Okutuusa ng'ebibuga bifuuse amatongo, nga tewali babibeeramu, n'amayumba nga tegakyalimu bantu, n'ensi ng'ezikidde ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndyoka njogera nti Mukama wange, birituusa wa okubaawo? N'addamu nti Okutuusa ebibuga lwe birizika nga tewali abituulamu, ne mu nnyumba nga temuli muntu ensi n'ezirikira ddala,