Isaiah 6:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nsi ne bwe mulisigalamu ekyekkumi kimu eky'abantu, egenda kuddamu eyokebwe; kyokka ng'omuvule oba omumyulira bwe bireka ekikolo nga bitemeddwawo, n'ensigo entukuvu yeeriba ekikolo mu nsi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ekimu eky’ekkumi ekiriba kisigaddewo, nakyo kirizikirizibwa. Naye ng’omumyuliru n’omuvule bwe gireka ebikolo byagyo bwe gitemebwa, bw’etyo ensigo entukuvu bw’erigwa mu ttaka n’esigala ng’ekikolo mu nsi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ekimu eky'ekkumi eky'abantu abo kiriba nga kikyasigaddewo. Newakubadde nga kiryokebwa, naye kiriba ng'omumyuliru oba ng'omuvule ogutemebwa, ne gusigazaawo ekikolo, ate ekyo ne kiba ensigo kwe gusibukira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ekimu eky'ekkumi eky'abantu abo kiriba nga kikyasigaddewo. Newaakubadde nga kiryokebwa, era ne kyokebwa, naye kiriba ng'omunyinya oba omuvule ogutemebwa, ne gusigazaawo ekikolo, ekikolo ekyo ne kiba ensigo kwe gusibukira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ekitundu eky'ekkumi bwe kiriba nga kikyasigadde omwo, kiririirwa ddala nate: ng'omumyuliru era ng'omuvule ekikolo kyagyo nga kisigadde, bwe gitemebwawo; bwe kityo ensigo entukuvu kye kikolo kyayo.