Isaiah 6:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baserafi nga bamuyimiridde waggulu, buli omu ng'alina ebiwaawaatiro mukaaga: ebibiri nga bimubisse amaaso, ebibiri nga bibikkiridde ebigere bye, ate ebibiri nga by'abuusisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waggulu we yali waali wayimiriddewo basseraafi: buli omu ng’alina ebiwaawaatiro mukaaga, ebibiri nga bye bibikka ku maaso ge, ebibiri nga bye bibikka ku bigere bye, n’ebibiri ng’abibuusa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Basseraafi baali bayimiridde waggulu we: buli omu ng'alina ebiwaawaatiro mukaaga; ebibiri nga bibisse ku maaso ge, n'ebibiri nga bibisse ku bigere bye, n'ebibiri nga bye yeeyambisa okubuuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waggulu w'entebe eyo, waali wayimiriddewo baserafi, buli omu ng'alina ebiwaawaatiro mukaaga, ebibiri nga bibisse ku maaso ge, ebibiri nga bibisse ku bigere bye, ebibiri nga bye yeeyambisa okubuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Basseraafi baali bayimiridde waggulu we: buli omu yalina ebiwaawaatiro mukaaga; ebibiri yabibikka mu maaso ge, n'ebibiri yabibikka ku bigere bye, n'ebibiri yabibuusa.