Isaiah 6:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baali bagambagana nga baleekaana nti: “Mutuukirivu, Mutuukirivu, Mutuukirivu, Omukama w'Amagye; ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli omu yali ng’ayogera ne munne n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna: ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omu n'ayogerera waggulu n'agamba munne nti, “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama ow'eggye: ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baali bagambagana nti: “Mutuukirivu, Mutuukirivu, Mutuukirivu Mukama Nnannyinimagye. Ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omu n'ayogerera waggulu eri munne ng'agamba nti Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama w'eggye: ensi yonna ejjudde ekiiibwa kye.