Isaiah 6:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'eddoboozi ly'abo abaali bayita, emisingi gy'emyango ne gikankana, Ekiggwa ne kijjula omukka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’emisingi gy’emiryango ne ginyeenyezebwa olw’eddoboozi ly’oyo eyali akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka, yeekaalu n’ejjula omukka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eddoboozi ly'Oyo eyayogerera waggulu ne likankanya emisingi gy'emiryango, Yeekaalu n'ejjula omukka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eddoboozi lyabwe ekkangufu ne likankanya emisingi gy'emiryango gy'Essinzizo. Essinzizo ne lijjula omukka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'emisingi gy'emiryango ne ginyeenyezebwa olw'edoboozi ly'oyo eyayogerera waggulu, ennyumba n'ejjula omukka.