Isaiah 6:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ŋŋamba nti: “Zinsanze, obwange bukomye! Anti nze ndi muntu wa mimwa egitali mirongoofu, ate ndi mu bantu ab'emimwa egitali mirongoofu, naye amaaso gange galabye Kabaka, Omukama w'Amagye!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndyoka nkaaba nti, “Zinsanze nze! Nfudde mpeddewo! Kubanga ndi muntu ow’emimwa egitali mirongoofu, era mbeera wakati mu bantu ab’emimwa egitali mirongoofu; kubanga amaaso gange galabye Kabaka, Mukama Katonda ow’Eggye!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndyoka njogera nti, “Zinsanze! nfudde nze, kubanga ndi muntu wa mimwa egitali mirongoofu, era ntuula wakati mu bantu aboogera ebitali birongoofu. Naye ate nzuuno kaakano amaaso gange galabye Kabaka, Mukama ow'eggye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ŋŋamba nti: “Zinsanze, nfudde nze, kubanga buli kigambo kye njogera, si kirongoofu, era ndi mu bantu aboogera ebitali birongoofu. Naye ate nzuuno ndabye Kabaka, Mukama Nnannyinimagye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndyoka njogera nti Zinsanze! kubanga nfudde; kubanga ndi muntu wa mimwa egitali mirongoofu, era ntuula wakati mu bantu ab'emimwa egitali mirongoofu: kubanga amaaso gange galabye Kabaka, Mukama ow'eggye.