Isaiah 6:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'alikoonyesa ku mimwa gyange, n'agamba nti: “Olabye? Kino kikutte ku mimwa gyo, omusango gwo gunaabuddwako, n'ekibi kyo kisonyiyiddwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’alikomya ku kamwa kange, n’agamba nti, “Laba, lino likoonye ku mimwa gyo, era obutali butuukirivu bwo bukuggyiddwako. Era n’ekibi kyo kikusonyiyiddwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'alikomya ku mimwa gyange n'agamba nti, “Laba, lino likomye ku mimwa gyo, era obutali butuukirivu bwo buggiddwawo, n'ekibi kyo kisonyiyiddwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'alikoonya ku mimwa gyange, n'agamba nti: “Eryanda lino nga bwe likoonye ku mimwa gyo, obutali bulongoofu bwo buggyiddwawo, n'ekibi kyo kisonyiyiddwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'alikomya ku kamwa kange, n'ayogera nti Laba, lino likomye ku mimwa gyo; era obutali butuukirivu bwo buggiddwawo, n'ekibi kyo kirongoosebbwa.